
Kitaffe ali mu ggulu,
Contributed by
Dr. Mukasa E. Ssemakula - "Welcome to Buganda" - E-mail m.e.ssemakula@wayne.edu
Erinnya lyo litiibwe,
Obwakabaka bwo bujje,
Byoyagala bikolebwe mu nsi,
Nga bwe bikolebwa mu ggulu.
Otuwe leero emmere yaffe eya buli lunaku.
Otusonyiwe ebibi byaffe,
Nga naffe bwe tusonyiwa abatukola obubi.
Totutwala mu kukemebwa, naye tulokole mu bubi.
Amiina.
Bible in Luganda, 1968 Edition, United Bible Societies.
nti Kitaffe ali mu ggulu,
Source: Bible in Luganda, 1968 Edition, United Bible
Societies.
Erinnya lyo litukuzibwe.
Obwakabaka bwo bujje.
By'oyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu.
Otuwe leero emmere yaffe eya leero.
Otusonyiwe amabanja gaffe,
nga naffe bwe tusonyiye abatwewolako.
Totutwala mu kukemebwa,
naye otulokole eri omubi.
Kubanga obwakabaka, n'obuyinza, n'ekitiibwa,
bibyo, emirembe n'emirembe,
Amiina.
Contributed by
Aleksandr Ermanov, Rostov-na-Donu, Russia - E-mail ermanov@donpac.ru

Source: "AVE MARIA in 404 lingue"
Ordine Equestro del San Sepolcro di Gerusalemme, Milano (1931).
Contributed by
David G. Landsnes, MD - E-mail dgwlmd@superlink.net
Nzikiriza Katonda Patiri omuyinza wa buli kantu
Omutonzi w'eggulu n'ensi.
Ne Yezu Kristu omwana we ali amo yekka.
Ye Mukama waffe,
Eyali mu lubuto ku bwa Mwoyo Mutuukirivu
N'azaalibwa Biikira Maria.
N'abonaabona ku mirembe gya Ponsio Pilato.
N'akomererwa ku musaalaba.
N'afa, n'aziikibwa, n'akka e Magombe.
Ku lunaku olwokusatu n'azuukira mu bafu.
N'alinnya mu ggulu.
Atudde ku gwa ddyo ogwa Katonda Patiri omuyinza wa buli kantu.
Alidda okulamula abantu abalamu n'abafu.
Nzikiriza Mwoyo Mutuukirivu, n'Eklezia Katulika Omutukuvu,
N'okussa ekimu okwa Batuukirivu, n'ekisonyiwo eky'ebibi,
N'okuzuukira okw'emibiri, n'obulamu obutaliggwaawo.
Amiina.
Ekitiibwa kibe ekya Patiri,
Translated by Ms. Beatrice Bulwa
N'ekya Mwana,
N'ekya Mwoyo Mutuukirivu.
Nga bwe kyaliwo olubereberye, ne kaakano, na bulijjo,
Emirembe n'emirembe.
Amiina.
Contributed by
Wolfgang Kuhl - E-mail WKuhl44238@aol.com
SECTION INDEX
CONVENT OF PATER NOSTER
CHRISTUS REX
© Copyright Christus Rex, Inc.